1 Kings 14

Akiya Alagula Yerobowaamu

1Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, 2 aYerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. 3 bTwala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” 4Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.

Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde.
5Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.

6Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. 7 cGenda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. 8 dNaggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. 9 eOyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.

10 f“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 gAbo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’

12“Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 hIsirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.

14Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 iMukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,
kitegeeza Omugga Fulaati
kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri.
16 kEra aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”

17 lAwo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.

19N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Lekobowaamu Kabaka wa Yuda

21 mLekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.

22 nYuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 23 oBeezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 pEra waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.

25 qMu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 rN’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.

29Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 sWaabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 tLekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Copyright information for LugEEEE